Ezekiel 20:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubaggyayo mu mawanga, mbakuŋŋaanye eyo yonna mu nsi gye musaasaanidde n'omukono ogw'amaanyi, ko n'omukono omugolole, n'obuyinza ko n'obuswandi obufukumule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibaggya mu mawanga n’omukono ogw’amaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, n'omukono ogw'amaanyi, nga nzijjudde ekiruyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikozesa obuyinza bwange obungi n'amaanyi era n'obusungu, ne mbaggya mu mawanga, era ne mbakomyawo okuva mu nsi ezo mwe mwasaasaanyizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogugoloddwa n'ekiruyi ekifukiddwa: