Ezekiel 20:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe nalamula bajjajjammwe mu ddungu ly'omu Misiri, bwe ntyo bwe ndibalamula, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe nnawoza ne bajjajjammwe mu ddungu ery'ensi y'e Misiri, bwe ntyo bwe ndiwoza nammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibawozesa nga bwe nawozesa bajjajjammwe mu ddungu ly'ensi y'e Misiri.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe nnawoleza ne bajjajjammwe mu ddungu ery'ensi y'e Misiri, bwe ntyo bwe ndiwoza nammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.