Ezekiel 20:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibagogolamu abo abajeemu, abamenyi b'amateeka gange. Newandibadde ndibaggya mu nsi kati mwe bali, naye tebaliyingira mu nsi ya Yisirayeli; olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abansobya; ndibaggya mu nsi mwe batuula, naye tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri: kale mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abakola ebibi ne bannyiiza. Abo ndibaggya mu nsi ze balimu kaakano, naye siribaleeta mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abansobya; ndibaggya mu nsi mwe batuula, naye tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri: kale mulimanya nga nze Mukama.