Ezekiel 20:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Nammwe ennyumba ya Yisirayeli, Omukama Katonda kino ky'agamba: Buli omu mu mmwe agende agoberere ebifaananyi byammwe ebya balubaale, abiweereze. Naye oluvannyuma mulimpulira, ne mulekera awo okwonoona erinnya lyange n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe ebya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo n’okuvumisa erinnya lyange ettukuvu n’ebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe, ayi ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mugende muweereze buli muntu ebifaananyi bye, era n'oluvannyuma, bwe mutalikkiriza kumpulira: naye erinnya lyange ettukuvu temuliryonoona nate n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Kale kaakano mmwe Abayisirayeli oba nga temukkiriza kumpulira, buli omu ku mmwe agende abe muweereza w'ebifaananyi bya balubaale by'alina. Naye temuddangamu kujaajaamya linnya lyange ettukuvu nga mumpa ebirabo byammwe, ate ng'erudda musinza ebifaananyi bya balubaale bye mulina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mugende muweereze buli muntu ebifaananyi bye, era n'oluvannyuma, bwe mutalikkiriza kumpulira: naye erinnya lyange ettukuvu temuliryonoona nate n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe.