Ezekiel 20:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku katemyo k'olusozi lwa Yisirayeli, Omukama Katonda y'agamba, eyo ennyumba yonna eya Yisirayeli, bonna mu nsi, balimpeereza, nange ndibasanyukira; eyo gye ndibasabira ebitambiro byammwe, n'ebibala ebisooka bye muweereza n'ebyonziira byammwe byonna ebitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, n’ebibala ebibereberye eby’ebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, okwo ennyumba yonna eya Isiraeri, bo bonna, kwe balimpeerereza mu nsi; eyo gye ndibakkiririza, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byammwe n'ebibala ebibereberye eby'ebitone byammwe wamu n'ebintu byammwe byonna ebitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi olwo entikko ya Yisirayeli, mwenna mwenna ab'Eggwanga lya Yisirayeli we mufa mwenkana, kwe mulinsinziza mu nsi eyo, Nze Mukama Afugabyonna. Eyo gye ndibasiimira, era ne mbasalira ebiweebwayo bye munandeetera, n'ebibala byammwe ebisooka okukungulwa era n'ebitone byammwe byonna bye mumpongera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)