Ezekiel 20:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibasanyukira ng'obubaani obw'akawoowo, bwe ndimala okubaggya mu mawanga n'okubakuŋŋaanya okuva mu mawanga gye mwasaasaanyizibwa; awo mu maaso g'amawanga gonna ndyeraga nga bwendi omutukuvu mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa ak’evvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso g’amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndimala okubakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga ne mbakomyawo okuva mu nsi ezo mwe mwasaasaanyizibwa, ndisiima ebitambiro byammwe ebyokebwa, era muliraga amawanga nga bwe ndi omutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga.