Ezekiel 20:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo mulimanya anti nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Yisirayeli, ensi gye nalayira okuwa bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe n’omukono ogugoloddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nnalayirira okugiwa bajjajjammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe ndibatuusa mu Yisirayeli, ensi gye nneerayirira okuwa bajjajjammwe, mulimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe.