Ezekiel 20:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo mulijjukira amakubo gammwe n'ebibi byammwe byonna bye mweyonoonamu; olwo mulyekyawa mwennyini olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olw’ebibi byonna bye mwakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mulijjuukirira eyo amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe byonna bye mwegwagwawaza nabyo; era mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mulijjukira emize gyammwe, n'ebikolwa byammwe byonna ebyenyinyalwa bye mwejaajaamyamu, era mulyetamwa mmwe mwennyini olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mulijjuukirira eyo amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe byonna bye mwegwagwawaza nabyo; era mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.