Ezekiel 20:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulimanya nti nze Mukama, mmwe nnyumba ya Yisirayeli, bwe ndibakolako olw'obulungi bw'erinnya lyange, naye nga sisinziira ku makubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebikyamu, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibakola ng’erinnya lyange bwe liri so si ng’ebibi byammwe bwe biri, n’ebikolwa byammwe eby’obukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ayi mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndimala okubayisa mu ngeri eweesa erinnya lyange ekitiibwa, sso si mu ngeri egwanira enneeyisa yammwe embi, n'ebikolwa byammwe ebikyamu, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mulimanya nga Nze Mukama.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.