Ezekiel 20:46 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali n’eri ekibira eky’ensi ey’Obukiikaddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, tunula obukiikaddyo obabulire ebiribatuukako, era olange ne birituuka ku kibira ky'obukiikaddyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, tunula ebukiikaddyo olaamirize ebirituuka ku bantu baayo, olange ebirituuka ku kibira ky'omu bukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, simba amaaso go obukiika obwa ddyo, otonnyese ekigambo kyo okwolekera obukiika obwa ddyo, olagulire ku kibira eky'ennimiro ey'obukiika obwa ddyo;