Ezekiel 20:47 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ogambe ekibira ky'obukiikaddyo nti, Wulira ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuma omuliro mu ggwe ne gwokya buli muti ogumera oguli mu ggwe, na buli muti mukalu: ennimi ez'omuliro tezirizikizibwa, guliranda okuva obukiikaddyo okutuuka obukiikakkono, gwokye buli omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gamba ekibira eky'omu bukiikaddyo kiwulire, Nze Mukama kye ŋŋamba. Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Laba, ndikuma omuliro mu ggwe, ne gwokya buli muti oguli mu ggwe, omubisi n'omukalu. Ennimi z'omuliro ogwo, tewaliba kiyinza kuzizikiza. Guliranda okuva ebukiikaddyo, okutuuka ebukiikakkono, gwokye buli omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ogambe ekibira eky'obukiika obwa ddyo nti Wulira ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuma omuliro mu ggwe ne gwokya buli muti ogwera oguli mu ggwe na buli muti mukalu: ennimi ez'omuliro ezaaka tezirizikizibwa, n'amaaso gonna okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono galiggya nagwo.