Ezekiel 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kubagamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ku lunaku lwe nalonda Yisirayeli, nalayira eri ezzadde ly'ennyumba ya Yakobo, ne mbalabikira mu nsi y'e Misiri. Nagolola omukono ne ndayira, ne mbagamba nti: “Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu b’ennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna mbagamba nti bwe neeroboza Yisirayeli, nalayirira ab'Eggwanga lya Yakobo eryo. Nabeemanyisiza mu nsi y'e Misiri, ne mbagamba nti nze Mukama, Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, bwe nnayimusa omukono gwange eri bo, nga njogera nti Nze Mukama Katonda wammwe;