Ezekiel 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y'e Misiri mbatwale mu nsi gye nali mbalabidde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, etejjika bulungi mu mawanga gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y’e Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo nnabalayirira okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubatwala mu nsi gye nnali mbategekedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, esinga ensi endala zonna ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku olwo, lwe nabalayirira okubaggya mu nsi y'e Misiri okubatwala mu nsi gye nali mbategekedde, engimu era engagga, esinga ensi endala zonna ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku lunaku olwo nayimusa omukono gwange eri bo okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubayingiza mu nsi gye nnali mbakettedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna: