Ezekiel 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbagamba nti: “Buli omu asuule eri ebyenyinyalwa kw'asimbye amaaso ge, temwegwagwawaza na bifaananyi bya balubaale eby'e Misiri, nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu eby’omuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala ab’e Misiri, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbagamba nti, Musuule eby'emizizo byonna ebibasikiriza, era temweyonoonyesanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabagamba basuule ebintu ebyenyinyalwa ebibasikiriza, era baleme kwejaajaamya na bifaananyi bya balubaale b'e Misiri, kubanga Nze Mukama, Nze Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mbagamba nti Musuule buli muntu emizizo egy'amaaso ge, so temweyonoonyesanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; Me Mukama Katonda wammwe.