Ezekiel 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ku lw'obulungi bw'erinnya lyange nabaggya mu Misiri, kino nakikola okuziyiza erinnya lyange okwonoonebwa mu mawanga gye baali, era agaali gandabye nga mbeeyoleka mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’obutavumisa linnya lyange mu maaso g’amawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olw’erinnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye sakikola olw'obutavumisa linnya lyange mu b'amawanga mwe baali, mwe nnabamanyisiza nti nja kubaggya mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne sikola ekyo, kubanga kyandivumaganyizza erinnya lyange mu mawanga mwe baali, mwe nabamanyisiza nti nja kubaggya mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nakola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga, mwe baali, be nneetegereza mu maaso gaabwe gye bali, nga mbaggya mu nsi y'e Misiri.