Ezekiel 21:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo buli muntu alimanya nti: nze Omukama nze nsowodde ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ate si kya kuzzaamu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu! Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda? “ ‘Ekitala kinyooma buli muggo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kiwagaddwa okutta, kiziguddwa kimyanse ng'enjota: kale tunaasanyuka? Omwana wange onyoomye buli kibonerezo n'okulabulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kiwagaddwa kitte, kiziguddwa kimyanse ng'enjota. Kale olwo tunaasanyuka? Abantu bange banyoomye buli kibonerezo n'okulabulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kiwagaddwa kitte ekiwendo; kiziguddwa kibe ng'enjota: kale tunaasanyuka? omuggo ogw'omwana we gunyooma buli muti.