Ezekiel 21:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe banaakubuuza nti: ‘Lwaki osinda?’ bagambe nti: ‘Olw'ebyo bye mpulidde; buli mutima gujja kutenguka na buli mukono gujja kulagaya; buli mutima gujja kutekemuka, n'entegetege zirinafuwa ng'amazzi. Kijja! Kijja kubaawo, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu, kubanga ekyo nkikola bantu bange, era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri. Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange, noolwekyo weekube mu kifuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo nga weesasabaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaaba owowoggane, ggwe omuntu, kubanga ekitala kino kijjiridde bantu bange n'abakungu bonna aba Yisirayeli. Baweereddwayo okuttibwa, wamu n'abantu bange abalala bonna. Kale weekubeekube ku bisambi nga weesansabaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo.