Ezekiel 21:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, langa ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba.’ Gamba nti: “ ‘Ekitala, ekitala kiwagaddwa, kiwawuddwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu, n’okuba ne mu ngalo. Leka ekitala kisale emirundi ebiri oba emirundi esatu. Kitala kya kutta, okutta okunene, nga kibataayiza enjuuyi zonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale ggwe, omwana w'omuntu, langa okube mu ngalo; leka ekitala kikozesebwe ogwokubiri oba ogwokusatu, ekitala kya kutta, okutta okunene, nga kiyingira mu bisenge byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano, ggwe omuntu, langa, okube mu ngalo, ekitala kiteme ab'okutta, kiteme ogwokubiri n'ogwokusatu. Kye kitala ekitta, ekitala eky'entiisa ekizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ggwe, omwana w'omuntu, lagula okube mu ngalo; ekitala kyongerwe omulundi ogw'okusatu, ekitala eky'abafumitiddwa okufa: kye kitala ky'omukulu, afumitiddwa okufa, ekiyingira mu bisenge byabwe.