Ezekiel 21:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiwagaddwa okusanjaga; kiwawuddwa kimyanse nga laddu…
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’emitima gyabwe girisaanuuka, n’abattiddwa baliba bangi. Ntadde ekitala ekitta ku miryango gyabwe gyonna. Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu era kinywezebbwa olw’okutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, emitima gyabwe girisaanuuka, balyesitala ne bagwa, kimyansa ng'enjota, kisongoddwa okutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntadde omumwa gwakyo ku miryango gy'abantu bange gyonna, ne kibaleetera okweraliikirira n'okwesittala ne bagwa. Kimyansa ng'enjota, kifuuliddwa kisongovu kitte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, omutima gwabwe gusaanuuke n'okwesittala kwabwe kwongerwe nnyo: ee! kifuuse ng'enjota, kisongoddwa olw'okutta.