Ezekiel 21:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakiwaayo kiwawulwe kikwatike mu mukono; kiwagaddwa, kiwawuddwa, kissibwe mu mukono gw'omusanjazi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ekitala genda osale ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono, ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tema ku ludda olwa ddyo; tala, oteme ku ludda olwa kkono, yonna yonna amaaso go gye goolekera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weekaaliise, oteme ku ludda olwa ddyo, tala oteme ku ludda olwa kkono, yonna yonna amaaso go gye goolekera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weekuŋŋaanye, tambulira ku gwa ddyo; tala, tambulira ku gwa kkono; yonna yonna amaaso go gye goolekera.