Ezekiel 21:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwana w'omuntu, leekaana, kuba ebiwoobe, kubanga kijjidde abantu bange; kijjidde bonna abakungu ba Yisirayeli, bagabuddwa eri ekitala, bo wamu n'abantu bange. Awo nno weesansabage.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange ndikuba mu ngalo, n’ekiruyi kyange kirikkakkana. Nze Mukama njogedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndikuba mu ngalo, n'ekiruyi kyange kirikkakkana, nze Mukama nkyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nja kukuba mu ngalo, nneemale ekiruyi. Nze Mukama, Nze nkyogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikuba mu ngalo, ne nzikusa ekiruyi kyange: nze Mukama nkyogedde.