Ezekiel 21:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno, Mwana w'omuntu, langa; kuba mu ngalo. Ekitala kikube emirundi ebiri, kikube esatu. Kino kitala kya kusanjaga, kya kusanjaga okunene okubeetoolodde wonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babbulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu: olambe ekifo, amakubo ago we geegattira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale ggwe omuntu, weeteerewo amakubo abiri, kabaka wa Babilooniya mw'ayinza okuyita ng'akutte ekitala kye, gombi gabe nga gatandikira mu nsi emu, olambe ekifo amakubo ago we geegattira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babulooni mwe kinaafuluma; ago gombi galiva mu nsi emu: olambe ekifo, okirambire ekkubo eridda mu kibuga we lisibuka.