Ezekiel 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, amaaso go goolekeze emaserengeta olange ng'oyogerera amaserengeta, oyogerere ebibira by'omu Negevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Omwana w'omuntu, tunula e Yerusaalemi, oyogere ekigambo ku bifo ebitukuvu, olabule ensi ya Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, tunula e Yerusaalemu, olaamirize ebirituuka ku bifo bye basinzizaamu, era olange ng'olabula ensi ya Yisirayeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera e Yerusaalemi, otonnyese ekigambo kyo okwolekera ebifo ebitukuvu, olagulire ku nsi ya Isiraeri;