Ezekiel 21:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emitima gimerenguke, abattibwa beeyongere obungi; ntadde ekitala ekisanjaga ku buli mulyango, kimyansa nga laddu, kiwawuddwa okusanjaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olage ekkubo ekitala mwe kinaayita okutuuka mu kibuga Labba eky'Abamoni, n'eddala erituuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko ebigo ebigumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olage ekkubo kabaka mw'anaayisa ekitala okutuuka mu Kibuga Rabba eky'Abammoni, n'ekkubo mw'anaayita okutuuka mu Buyudaaya mu Kibuga Yerusaalemu ekiriko ebigo ebigumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oteekewo ekkubo ekitala mwe kinaafuluma okutuuka e Labba eky'abaana ba Amoni n'okutuuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko enkomera.