Ezekiel 21:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buliba gyebali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye buzze okubajjukiza obutali butuukirivu bwabwe, balyoke bakwatibwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Yerusaalemu bino bajja kubiyita bulanzi obutaliimu makulu, olw'obweyamo obwabakolerwa. Naye obulanzi buno buzze okubajjukiza ebibi byabwe bye baakola, n'okubalabula nga bajja kukwatibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buliba gye bali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye ajjukiza obutali butuukirivu, balyoke bakwatibwe.