Ezekiel 21:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu lamba enguudo bbiri ekitala kya kabaka w'e Babiloni ze kinaakwata; zombi nga zitandikira mu nsi emu; teeka ekipande mu masaŋŋanzira oluguudo we lugendera mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga mujjukiza obutali butuukirivu bwammwe, okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabikira mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mubinzijukiza buli kiseera, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kino, Nze Mukama Katonda kye ŋŋamba, nti ebibi byammwe bibikkuddwa. Buli omu amanyi bwe muli aboonoonyi. Ebibi byammwe mubiragidde mu bikolwa byammwe byonna. Kale nga bwe mubinzijukiza buli kaseera, nja kubawaayo mukwatibwe abalabe bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mujjukizizza obutali butuukirivu bwammwe, kubanga okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabika mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mujjukiddwa, mulikwatibwa n'omukono.