Ezekiel 21:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga kabaka w'e Babiloni ayimiridde mu masaŋŋanzira enguudo ebbiri we zaawukanira ng'ayagala okulagulwa: akyanga obusaale, yeebuuza ku bulubaale bwe obw'awaka, yeekebejja ekibumbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, otikkuleko engule, kubanga ebintu tebirisigala nga bwe biri. Abanyoomebwa baligulumizibwa, n'abeegulumiza balitoowazibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti ggyako engule n'ekitambaala ku mutwe gwo, kubanga ebintu tebirisigala nga bwe biri. Abagayibwa be balikuzibwa, abeekitiibwa bazzibwe wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, okkakkanye ebigulumizibwa.