Ezekiel 21:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigwa mu gwa ddyo bya Yeruzaalemu: wa w'anassa endoddo ezikoona, aw'okuduumirira okusanjaga, ow'okulayiriza enduulu, ow'okussa endoddo z'okukoona enzigi, aw'okutuuma embibiro n'okuzimba ekikomera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika, tekirizzibwawo okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ekyo ndikizikiriza ne kiggwaawo, era tekiriddawo okutuusa nnyini kyo lw'alijja ne nkimuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n'ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.