Ezekiel 21:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso gaabwe ali ng'alaguuliriza obwereere, balayira n'ebirayiro, naye alibajjukiza ekibi kyabwe n'abawamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe: “ ‘Ekitala, ekitala, kisowoddwa okutta, Kiziguddwa okusaanyaawo era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naawe, omwana w'omuntu, langa oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n'okuvuma kwabwe nti, Ekitala, ekitala kisowoddwa okutta, kiziguddwa okuzikiriza, era kimyansa ng'enjota.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, langa oyogere Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba Abammoni abavuma Abayisirayeli. Bagambe nti: ‘Ekitala kisowoddwa okutta, kiziguddwa okuzikiriza, era kimyansa ng'enjota.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda eby'abaana ba Amoni n'eby'okuvuma kwabwe; oyogere nti Ekitala, ekitala kisowoddwa, kiziguliddwa ekiwendo, okukiriisa, kibeere ng'enjota: