Ezekiel 21:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga muleetedde ebibi byammwe okujjukirwa nga mwoleka emisango gyammwe, n'ebibi byammwe ne birabika mu byonna bye mukola, mugidde ne mukola mutyo mujjukirwe, mujja kuwambibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba, ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba, ekitala kiriteekebwa ku bulago bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa, olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okulabikirwa kwe mufuna si kwa mazima, ne bye babalagula bya bulimba, ekitala kiriteekebwa ku bulago bwa babi ab'okuttibwa, olunaku lwabwe lutuuse, bafune okubonerezebwa okusembayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okulabikirwa kwe mufuna si kwa mazima, ne bye babalagula bya bulimba. Muli babi era boonoonefu, era olunaku olw'enkomerero, olw'okuweerwako ekibonerezo kyammwe, lutuuse. Ekitala kijja kusala obulago bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe baakulabira ebyayanga, nga bwe baakulagula eby'obulimba, okukuteeka ku nsingo z'ababi abafumitiddwa okufa abajjiddwa olunaku lwabwe, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero.