Ezekiel 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gamba ekibira ky'e Negevu nti: ‘Wulira ekigambo ky'Omukama: Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kukuteekera omuliro, gwokye mu ggwe buli muti, omubisi n'omukalu. Omuliro ogulituntumuka tegulizikira; wonna kungulu wagenda kuggya, okuva emaserengeta okutuuka emambuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala abantu abatuukirivu n'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ogigambe nti Mukama agamba nti: ‘Nfuuse mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala abantu abalungi n'ababi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi.