Ezekiel 21:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: Ettambaala liggye ku mutwe, n'engule gyetikkule. Ebintu tebijja kusigala nga bwe byali; ekitene kijja kugulumizibwa, n'ekigulumivu kissibwe wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikufukako ekiruyi kyange, ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange, ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo, abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndibayiirako ddala obusungu bwange, bubookye ng'olunyata lw'omuliro. Era ndibawaayo mu mikono gy'abantu abakambwe ng'ensolo, abamanyirivu mu kuzikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza.