Ezekiel 21:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kifulukwa! Kifulukwa! Kifulukwa bwe nzija okukifuula; tekiridda buggya okutuusa lw'anajja oyo nnannyini kyo mu butuufu, oyo gwe ndikiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oliba nku za muliro, n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo, era tolijjukirwa nate, kubanga nze Mukama njogedde.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliyibwa mu nsi yo, tolijjukirwa nate, kubanga nze Mukama nkyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulisaanyizibwawo omuliro. Omusaayi gwammwe guliyiibwa mu nsi yammwe, ne mutaddamu kujjukirwa.’ Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliba wakati mu nsi; tolijjukirwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde.