Ezekiel 21:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muntu yenna aliraba nti nze Mukama nze nguteekedde; tegulizikizibwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kubanga ndikumaliramu ddala abatuukirivu n'ababi, ndisowolayo ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo okulwanyisa abantu bonna okuva e bukiikaddyo okutuuka e bukiikakkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okumalirawo ddala mu ggwe abalungi n'ababi, ndisowolayo ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne nnwanyisa abantu bonna okuva ebukiikaddyo okutuuka ebukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kubanga ndikumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi, ekitala kyange kyekiriva kifuluma mu kiraato kyakyo okutabaala bonna abalina omubiri, okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono: