Ezekiel 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Yii! Ayi Mukama Katonda! Banjogerako nti: ‘Oyo ayisa buyisa ngero!’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale abantu bonna balimanya nga, nze Mukama, nze nsowodde ekitala okuva mu kiraato kyakyo era sirikizzaamu nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna balimanya nga Nze Mukama, nsowodde ekitala kyange mu kiraato kyakyo, era sijja kukizzaamu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale bonna abalina omubiri balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo; tekiridda nate lwa kubiri.