Ezekiel 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ggwe omwana w'omuntu, ssa ekikkowe, ng'omuntu alina obuyinike obungi mu mutima, ssa ekikkowe bw'otyo nga bonna balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale ggwe omuntu, sinda ng'omuntu alina obuyinike obungi mu mutima, sinda nga bonna balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ssa ebikkowe, ggwe omwana w'omuntu; amabega go nga gakusonjose era ng'oliko obuyinike bw'olissa ebikkowe bw'otyo bo nga balaba.