Ezekiel 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, amaaso go gatunuulize Yeruzaalemu, oyogerere Ekitukuvu, langa ng'oyogerera ensi ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olunaatuuka bwe banaakubuuza nti, ‘Lwaki ggwe okussa ekikkowe?’ onoobaddamu nti, ‘Olw'amawulire ge mpulidde, ag'ebyo ebijja: buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galinafuwa ne gafuuka ng'amazzi, bijja, era birituukirira, bw'ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe banaakubuuza nti: ‘Lwaki osinda?’ Obagambe, nti: ‘Nsinda olw'amawulire ge mpulidde, ag'ebyo ebijja. Bwe binaatuuka, buli muntu ajja kwewanika omutima, ayongobere emikono, aggweemu amaanyi, era amaviivi ge gakubagane. Ebyo bijja kubaawo, ddala bijja kutuukirira.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olunaatuuka bwe banaakugamba nti Lwaki ggwe okussa ebikkowe? n'oyogera nti Olw'ebigambo ebiwuliddwa, kubanga bijja: na buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi: laba, bijja, era birikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda.