Ezekiel 22:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggwe omu akola eby'obugwenyufu ne muka munne, omulala n'agwagwawaza mukaamwana; omulala mu ggwe n'ayonoona mwannyina, muwala wa kitaawe ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi eby’obwenzi ne muka muliraanwa we, omulala n’ayonoonyesa muka mwana mu buswavu, ate omulala n’akwata mwannyina muwala wa kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waliwo akoze eky'omuzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obukaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwannyina muwala wa kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ggwe mulimu abenda ku bakaabasajja, n'abasigula bakaabaana baabwe, era n'abakwata bannyinaabwe bwe bagatta bakitaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waliwo akoze eky'omuzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obukaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwannyina muwala wa kitaawe.