Ezekiel 22:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggwe abantu bakkiriza okulya enguzi bayiwe omusaayi; okkiriza okuwola n'obuliika n'okutwala amagoba agayitiridde n'ofunira ku munno ng'omulyazaamaanyi; nange onneerabidde, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri ey’obukumpanya, era munneerabidde, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba agasukkiridde era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba mu ngeri ey'obukumpanya, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ggwe, mulimu abagulirirwa okutemula abantu, n'abamu basaba amagoba ku nsimbi ze bawola Bayisirayeli bannaabwe, ne babagaggawalirako. Banneerabidde.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba ne bisukkirira, era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba ng'okwatiddwa omululu ng'ojooga, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda.