Ezekiel 22:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli enfuukidde ssengere; bino byonna: ekikomo, ebbaati, essasi ne ffeeza bifuuse ssengere mu kabiga wakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ng’ebikomo, masasi, n’ebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi ky’ekyokero. Bali ng’amasengere ga ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri efuuse amasengere gye ndi: bonna bikomo na masasi na byuma na bbaati wakati mu kikoomi; bo masengere ga ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli banfuukidde abatalina mugaso. Bo masengere agaggyiddwamu ekikomo, amasasi, ekyuma, ebbaati oba ffeeza mu kabiga k'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri efuuse amasengere gye ndi: ne bonna bikomo na masasi na byuma na bbaati wakati mu kikoomi; masengere ga ffeeza.