Ezekiel 22:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga mwenna mufuuse ssengere, nzija kubakuŋŋaanyiza mu Yeruzaalemu wakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Kubanga mwenna mufuuse masengere, kyendiva mbakuŋŋaanya ne mbateeka wakati mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse masengere, laba, kyendiva mbakuŋŋaanya mu Yerusaalemi wakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: nga mwenna bwe mufuuse amasengere, ndibakuŋŋaanya ne mbaggya mu Yerusaalemu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse masengere, laba, kyendiva mbakuŋŋnaanya mu Yerusaalemi wakati.