Ezekiel 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naawe mwana w'omuntu, onoolamula, onoolamula ekibuga eky'omusaayi? Awo nno mulage ebyenyinyalwa bye byonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna eby’ekivve;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, onoosalira omusango ekibuga ekyo ekijjudde obutemu? Kale kimanyise byonna ebyenyinyalwa bye kikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosala omusango ogw'ekibuga eky'omusaayi? kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna.