Ezekiel 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'abantu bwe bakuŋŋaanyiza ffeeza n'ekikomo, ekyuma, essasi n'ebbaati mu kabiga, omuliro ne gukumwa wansi ne bisaanuuka, bwe ntyo mu buswandi ne mu busungu bwange bwe ndibakuŋŋaanya ne mbassaamu musaanuuke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omuntu bw’okuŋŋaanya effeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, n’amasasi mu kyokero okubisaanuusa n’omuliro ogw’amaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omuliro okubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndikuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe bakuŋŋaanya ebiyinjayinja ebirimu ffeeza, oba ekikomo, oba ekyuma, oba ebbaati oba essasi, ne babiteeka mu kabiga k'omuliro ne bafukuta okubisaanuusa, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe, nga nnina obusungu n'ekiruyi, ne mbateeka awo, ne mbasaanuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omuliro okubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa.