Ezekiel 22:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, mugambe nti: ‘Ggwe oli ttaka okutatonnye nkuba yadde oluwandaggirize ku lunaku olw'obusungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, yogera eri ensi nti, ‘Ggwe oli nsi eteri nongoose, era etetonnyebwako nkuba ku lunaku olw’ekiruyi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, kigambe nti Ggwe oli nsi eteri noongoose, era eteritonnyebwako nkuba ku lunaku olw'ekiruyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, gamba Abayisirayeli nti ensi yaabwe si nnongoofu, era teritonnyebwamu nkuba mu kiseera kye ndigibonererezaamu nga nsunguwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omwana w'omuntu, kigambe nti ggwe oli nsi eterongoosebwa, so tetonnyebwako nkuba ku lunaku olw'okunyiigirako.