Ezekiel 22:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu mu ye bali ng'empologoma ewuluguma, egajambula omuyiggo; bakavvula abantu, batwala n'eby'obugagga, ne bannamwandu babongedde obungi mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi b’ensi balina enkwe, bali ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo gwayo; bavaabira abantu, ne batwala eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, ne bafuula abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo: balidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi abagirimu beekobye, ne baba ng'empologoma ewuluguma, etaagulataagula ensolo z'eyizze. Basse abantu, ne banyaga ensimbi n'ebyobugagga, na buli kintu eky'omuwendo, ne baleka ng'abakazi bangi bafuuse bannamwandu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo: alidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde bannamwandu baakyo okuba abangi wakati mu kyo.