Ezekiel 22:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona batyobodde etteeka lyange ne bajaajaamya ebintu byange ebitukuvu; tebaawula kitukuvu na kitali kitukuvu; tebayigiriza njawulo wakati w'ekitali kirongoofu n'ekirongoofu; eky'okutuukiriza Sabbaato zange bakizibira amaaso, ne mpeebuuka mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu n’ebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange, era boonoonye ebintu byange ebitukuvu: tebaawula bitukuvu ku bitali bitukuvu, tebayigiriza bantu kwawulamu birongoofu ku bitali birongoofu, era tebassaayo mwoyo kukuuma Ssabbiiti zange, ne bandeetera obutassibwamu kitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona baamu, bamenya amateeka gange, era bajaajaamizza ebintu byange ebitukuvu. Tebaawula bitukuvu ku bitali bitukuvu. Tebayigiriza bantu kwawula birongoofu na bitali birongoofu, era tebassaayo mwoyo kukuuma Sabbaato ze nateekawo, kale ne bandeetera obutassibwamu kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona baakyo bagiridde ekyejo amateeka gange, era bagwagwawazizza ebintu byange ebitukuvu: tebaawuddeemu bitukuvu n’ebitali bitukuvu, so tebayigiriza bantu okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, era bakwese amaaso gaabwe essabbiiti zange, nange nvumisibwa mu bo.