Ezekiel 22:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu baabwe mu ye, bali ng'emisege egigajambula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi n'okuzikiriza obulamu olw'okufuna mu bulyazaamaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu baakyo bali ng’emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi ne batta abantu okukola amagoba mu butali bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakungu baamu bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo, batta abantu ne babazikiriza, balyoke bafune amagoba agatali ga mazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafuzi baamu bali ng'emisege egitaagulataagula ensolo ze giyizze. Batta abantu ne babazikiriza, balyoke beetwalire ebintu byabwe bagaggawale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakungu baakyo wakati mu kyo bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiggo; okuyiwa omusaayi n'okuzikiriza emmeeme balyoke bafune amagoba agatali ga mazima.