Ezekiel 22:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalanzi be byonna ebyo babimaalako ennoni n'okulabikirwa omutaali butuufu n'okulanga ebya sswakaba nga bagamba nti: “Omukama Katonda kino ky'agamba,” sso ng'Omukama tannayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba n’okwolesebwa okukyamu n’okuwa obunnabbi obw’obulimba, nga boogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bannabbi baamu babikkirira ebibi ebyo, ng'abantu bwe babikka ekisenge nga bakisiigako langi. Babalimba n'okwolesebwa okukyamu n'okuwa obunnabbi obw'obulimba, nga boogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi baamu babikkirira ebibi ebyo, ng'abantu bwe babikkirira ekisenge nga bakisiigako langi. Bafuna okulabikirwa okutaliiwo, ne balanga eby'obulimba. Bagamba nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba bw'ati,’ sso nga Nze Mukama, sirina kye njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bannabbi baakyo babasiigiddeko ebbumba eritasekuddwa bulungi, nga balaba ebyayanga era nga babalagula eby'obulimba, nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Mukama nga so tayogedde.