Ezekiel 22:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'ensi eno balyazaamaanya, banyaga n'eryanyi, babonyaabonya omunkuseere n'omunaku, banyigiriza omugwira awatali kubalira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ab’omu nsi bakola eby’obukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ab'omu nsi bajooga bannaabwe, ne babanyagako ebyabwe, banyigiriza omwavu n'eyeetaaga, era bajooga munnaggwanga awatali kumusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abatuuze b'omu nsi eyo bayiikiriza bannaabwe, ne babanyagako ebyabwe. Banyigiriza abaavu n'abali mu bwetaavu, ne bayiikiriza abagwira awatali kubasaasira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ab'omu nsi bajooze, ne bagoberera okunyaga; weewaawo, beeraliikirizza omwavu n'eyeetaaga, era bajooze nunnaggwanga nga bamulanga bwereere.