Ezekiel 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mugambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Wattu ekibuga ekiyiwa omusaayi mu kyo wakati, okwezimbiriza obudde, ekikola ebifaananyi bya balubaale okwegwagwawaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe ekibuga ekittira abantu mu kyo era ekyeyonoonesa olwa bakatonda abalala be beekolera, weeleeseeko wekka ekivume,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo, ekyonoonese olw'okukola ebifaananyi, ekiseera kyakyo kituuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitegeeze nti: Mukama Afugabyonna agamba nti nga bw'otemudde abantu bo abangi, ne weejaajaamya ng'osinza ebifaananyi bya balubaale, ekiseera kyo kituuse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo so, ekiseera kyakyo kituuke, ekikola ebifaananyi okweyonoona okwegwagwawaza!